Ezekiel 33:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, gamba ennyumba ya Yisirayeli nti: ‘Kino kye mugamba nti: “Emisango gyaffe gituzitooweredde, tukenena olw'okubeera gyo, tunaasobola tutya okuba abalamu?” ’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu, tegeeza ennyumba ya Isirayiri nti, Mwogera nti, ‘Okusobya kwaffe n’okwonoona kwaffe kutuzitoowerera, era tuyongobera mu kwo, tuyinza tutya okuwona?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naawe, omwana w'omuntu, gamba ennyumba ya Isiraeri nti Mwogera bwe muti nti, ‘Okusobya kwaffe n'okwonoona kwaffe kuli ku ffe, era tuyongoberera mu kwo; kale tuyinza tutya okuba abalamu?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu, gamba ab'Eggwanga lya Yisirayeli nti: Mugamba nti: ‘Tuzitoowereddwa ebibi byaffe n'ensobi zaffe, bitumazeemu amaanyi. Kale tunaalema tutya okufa!’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naawe, omwana w'omuntu, gamba ennyumba ya Isiraeri nti Mwogera bwe muti nti Okusobya kwaffe n'okwonoona kwaffe kuli ku ffe, era tuyongoberera mu kwo; kale twandibadde tutya abalamu?