Ezekiel 33:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bagambe nti: ‘Nze nga ndi mulamu, Omukama Katonda y'agamba, sisanyukira kufa kwa mubi, wabula njagala yeddemu ave mu makubo ge amabi abeere mulamu. Mweddemu! Mweddemu muve mu makubo gammwe amabi, lwaki mwandifudde, mmwe nnyumba ya Yisirayeli?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bategeeze nti, ‘Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, sisanyukira kufa kw’abakozi ba bibi, wabula bo okukyuka ne bava mu kkubo lyabwe ebbi ne baba balamu. Mukyuke, mukyuke okuva mu makubo gammwe amabi. Lwaki mufa, mmwe ennyumba ya Isirayiri?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bagambe nti, Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, sisanyukira okufa kw'omubi, wabula omubi akyuke ave mu kkubo lye abeere omulamu. Mukyuke, mukyuke okuva mu makubo gammwe amabi; kubanga mwagalira ki okufa, ayi ennyumba ya Isiraeri?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bagambe nti: ‘Nze Mukama Afugabyonna, nga bwe ndi omulamu, sisanyukira kufa kwa mwonoonyi, wabula njagala akyuke ave mu mpisa ze embi, abe mulamu. Kale, mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli, mukyuke, mukyuke muve mu mpisa zammwe embi. Lwaki mwagala mufe?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bagambe nti Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, sirina ssanyu lye nsanyukira okufa kw'omubi: wabula omubi akyuke ave mu kkubo lye abeere omulamu: mukyuke, mukyuke okuva mu makubo gammwe amabi; kubanga mwagalira ki okufa, ai ennyumba ya Isiraeri?