Ezekiel 33:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, yogera eri abantu b'eggwanga lyo nti: ‘Obutuukirivu bw'omutuukirivu tebulimuwonya bw'alikola ekisobyo, n'obubi bw'omubi tebulimuleetera kugwa kasita alyeddamu n'ava mu bugwenyufu bwe. Omutuukirivu kasita alikola ekibi, tagenda kulama olw'obutuukirivu bwe yalina.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kale nno, omwana w’omuntu kyonoova otegeeza abantu bo nti, ‘Obutuukirivu obw’omutuukirivu tebulimuwonyesa bw’alijeema, era n’obutali butuukirivu bw’atalina butuukirivu tebulimuzikiriza bw’alikyuka n’abuleka. Omuntu omutuukirivu, bw’aliyonoona, taliba mulamu olw’obutuukirivu bwe obw’emabega.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naawe, omwana w'omuntu, gamba abantu bo nti, Obutuukirivu obw'omutuukirivu tebulimuwonyeza ku lunaku olw'okusobya kwe; n'obubi obw'omubi tebulimuzikirizisa ku lunaku lw'akyuka okuleka obubi bwe. Oyo alina obutuukirivu taliyinza kuba mulamu olw'obwo ku lunaku lw'ayonoona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kaakano, ggwe omuntu, gamba abantu bo Abayisirayeli nti omuntu omulungi bw'akola ebibi, ebirungi bye yakola edda tebirimuwonya. N'omuntu omubi bw'akyuka n'alekayo okukola ebibi, talibonerezebwa. Era n'omuntu omulungi bw'atandika okwonoona, taliwonya bulamu bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naawe, omwana w'omuntu, gamba abaana b'abantu bo nti Obutuukirivu obw'omutuukirivu tebulimuwonyeza ku lunaku olw'okusobya kwe; n'obubi obw'omubi tebulimugwisa ku lunaku lw'akyuka okuleka obubi bwe: so n'oyo alina obutuukirivu taliyinza kuba mulamu olw'obwo ku lunaku lw'ayonoona.