Ezekiel 33:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe ndiba ŋŋambye omutuukirivu nti ojja kubeera mulamu, ye amala yeeyinula obutuukirivu bwe, n'akola obubi, byonna eby'obutuukirivu bye yakola bigenda kwerabirwa, alifa olw'obubi bw'aliba akoze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe ndigamba omutuukirivu nga mazima ddala aliba mulamu, naye ne yeesiga obutuukirivu bwe n’ayonoona, tewaliba ne kimu ku bikolwa eby’obutuukirivu bye yakola ebirijjukirwa, naye mu butali butuukirivu bwe bw’akoze omwo mw’alifiira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe ŋŋamba omutuukirivu nga aliba mulamu, naye ne yeesiga obutuukirivu bwe, n'akola obutali butuukirivu, tewaliba ku bikolwa bye eby'obutuukirivu ebirijjukirwa; naye mu butali butuukirivu bwe bw'akoze omwo mw'alifiira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nkakasa omuntu omulungi nti aliba mulamu, kyokka ne yeesiga obulungi bwe obw'edda, n'atandika okukola ebibi, tewaliba kijjukirwa ku birungi bye yakola, wabula mu bibi by'akoze mw'alifiira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe ŋŋamba omutuukirivu nga talirema kuba mulamu; bw'aneesiganga obutuukirivu bwe, n'akola obutali butuukirivu, tewaliba ku bikolwa bye eby'obutuukirivu ebirijjukirwa; naye mu butali butuukirivu bwe bw'akoze omwo mw'alifiira.