Ezekiel 33:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso bwe ndiba ŋŋambye omubi nti: ‘Oli wa kufa,’ amala yeenenya ekibi kye n'akola ebikolwa eby'obutuufu n'obutuukirivu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate bwe ndigamba omwonoonyi nti, ‘Mazima ddala olifa,’ naye n’akyuka okuleka ebibi bye, n’akola ebyalagirwa era ebituufu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nate bwe ŋŋamba omubi nti Tolirema kufa; naye n'akyuka okuleka okwonoona kwe n'akola ebyo ebyalagirwa eby'ensonga;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era bwe ndabula omuntu omubi nti ajja kufa, kyokka n'akyuka n'alekera awo okwonoona, n'akola ebyo ebituufu by'alagirwa okukola,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nate bwe ŋŋamba omubi nti Tolirema kufa; bw'anaakyukanga okuleka okwonoona kwe n'akola ebyo ebyalagirwa eby'ensonga;