Ezekiel 33:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'azzaayo omusingo gwe yatwala olw'okwewolwako, ne bye yanyaga n'abizzaayo, n'atambulira mu mateeka agawa obulamu, n'atakola bubi, aliba mulamu, tagenda kufa;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era bw’alisasula ebbanja lye, n’azaayo ne bye yabba, n’atambulira mu mateeka agaleeta obulamu, n’atayonoona, mazima ddala aliba mulamu, talifa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
omubi oyo n'okuzzayo n'azzaayo omusingo, n'azzayo ekyo kye yabba, n'atambulira mu mateeka ag'obulamu, nga taliiko butali butuukirivu bw'akola, aliba mulamu, talifa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
okugeza, bw'azzaayo omusingo gwe yaggya ku muntu gwe yawola, oba bw'akomyawo kye yabba, n'agoberera amateeka agawa obulamu, nga taliiko kibi ky'akola, talirema kusigalawo nga mulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
omubi bw'azzangayo omusingo, n'akomyawo ekyo kye yanyaga, n'atambulira mu mateeka ag'obulamu, nga taliiko butali, butuukirivu bw'akola; talirema kuba mulamu, talifa.