Ezekiel 33:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibi bye byonna by'aliba akoze, tebigenda kujjukirwa ku ye; yakola ebikolwa eby'obutuufu n'obutuukirivu, oyo aliba mulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewaliba ne kimu ku bibi bye yakola ebirijjukirwa eri ye; aliba akoze ebyalagirwa era ebituufu, era aliba mulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewaliba ku bibi bye bye yakola ebirijjukirwa ku ye, kubanga akoze ebyo ebyalagirwa eby'ensonga, aliba mulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Alisonyiyibwa ebibi byonna bye yakola, n'aba mulamu, kubanga akoze ebyo ebituufu by'alagirwa okukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tewaliba ku bibi bye bye yakola ebirijjukirwa eri ye: akoze ebyo ebyalagirwa eby'ensonga; talirema kuba mulamu.