Ezekiel 33:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Naye abantu b'eggwanga lyo bagamba nti: ‘Amakubo g'Omukama si matuufu.’ Sso eryabwe lyennyini lye litali ttuufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye ate abantu ab’ensi yo boogera nti, Ekkubo lya Mukama si lya bwenkanya, so nga ate ekkubo lyabwe lye litali lya bwenkanya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era naye abantu bo boogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama teryenkanankana.’ Naye ate ekkubo lyabwe lye litenkanankana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye abantu b'Eggwanga lyo bagamba nti nze Afugabyonna, bye nkola, si bya bwenkanya, sso nga bo bye bakola bye bitali bya bwenkanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye abaana b'abantu bo boogera nti Ekkubo lya Mukama teryenkanankana: naye bo ekkubo lyabwe lye litenkanankana.