Ezekiel 33:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omutuukirivu bw'alireka obutuukirivu bwe, n'akola obubi, alifa olw'okubeera kyo;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu omutuukirivu bw’alikyuka okuva mu butuukirivu bwe n’akola ebibi, alifa olw’ebibi bye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omutuukirivu bw'akyukanga okuleka obutuukirivu bwe n'akola obutali butuukirivu, alifiira omwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu omulungi bw'akyuka n'ava ku kukola ebirungi, n'akola ebibi, alifa olw'okukola ebibi ebyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omutuukirivu bw'akyukanga okuleka obutuukirivu bwe n'akola obutali butuukirivu, n'okufa alifiira omwo.