Ezekiel 33:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye omubi singa alireka obugwenyufu bwe, n'akola ebikolwa eby'obutuufu n'obutuukirivu, aliba mulamu okubeera kyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate omukozi w’ebibi bw’alikyuka okuleka obutali butuukirivu bwe n’akola ebyalagirwa era ebituufu, aliba mulamu olw’ebyo by’akoze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omubi bw'akyukanga okuleka obubi bwe n'akola ebyo ebyalagirwa eby'ensonga, aliba mulamu olw'ebyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omubi bw'akyuka n'alekayo okukola ebibi, n'akola ebyo ebituufu by'alagirwa okukola, aliwonya obulamu bwe olw'okukola bw'atyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omubi bw'akyukanga okuleka obubi bwe n'akola ebyo ebyalagirwa eby'ensonga, aliba mulamu olw'ebyo.