Ezekiel 33:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, yogera eri abantu b'eggwanga lyo obagambe nti: ‘Singa nsindika ekitala mu nsi, abantu mu nsi bamala balonda omusajja omu mu nsi yaabwe abeere omukuumi waabwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu yogera eri abantu obategeeze nti, ‘Bwe ndirumba ensi n’ekitala, abantu ab’omu nsi ne baddira omu ku bo ne bamufuula omukuumi waabwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omwana w'omuntu, yogera eri abantu bo obagambe nti Bwe ndeetanga ekitala ku nsi, abantu ab'omu nsi ne baddira omusajja wakati mu bo ne bamuteekawo okuba omukuumi waabwe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu, yogera n'abantu b'eggwanga lyo, obategeeze ekibaawo bwe mbaako ensi gye nsindiseemu olutalo: abantu ab'omu nsi eyo beerondamu omu ku bo, ne bamuteekawo okuba omukuumi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana w'omuntu, yogera n'abaana b'abantu bo obagambe nti Bwe ndeetanga ekitala ku nsi, abantu ab'omu nsi bwe baggyanga omusajja wakati mu bo ne bamuteekawo okuba omukuumi waabwe: