Ezekiel 33:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate mmwe, nnyumba ya Yisirayeli, mugamba nti: ‘Amakubo g'Omukama si matuufu.’ Naye buli omu ŋŋenda kumulamula nga ngerera ku makubo ge.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mmwe ennyumba ya Isirayiri ne mwogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama si lya bwenkanya.’ Naye ndibasalira omusango buli muntu amakubo ge nga bwe gali.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era naye mwogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama teryenkanankana.’ Ayi ennyumba ya Isiraeri, ndibasalira omusango buli muntu ng'amakubo ge bwe gali.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mugamba nti nze, Afugabyonna bye nkola si bya bwenkanya. Mmwe Abayisirayeli, buli muntu ndimusalira omusango, nga nsinziira ku bikolwa bye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye mwogera nti Ekkubo lya Mukama teryenkanankana. Ai ennyumba ya Isiraeri, ndibasalira omusango buli muntu ng'amakubo ge bwe gali.