Ezekiel 33:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, abasula mu matongo gano ag'omu nsi ya Yisirayeli bagamba nti: ‘Yiburayimu yali bw'omu naye ensi n'emuweebwa ebeere yiye; ffe tuli bangi, awo nno ensi yatuweebwa ebeere yaffe.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu, abatuuze ab’omu matongo ago mu nsi ya Isirayiri, boogera nti, ‘Obanga Ibulayimu yali muntu omu n’agabana ensi, naffe abangi, tuligabana.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omwana w'omuntu, abo abali mu bifo ebyo ebyazika eby'omu nsi ya Isiraeri boogera nti, ‘Ibulayimu yali omu, naye n'asikira ensi, naye ffe tuli bangi, ensi etuweereddwa okuba obusika.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu, abantu abali mu bibuga ebyafuuka amatongo, eby'omu nsi ya Yisirayeli bagamba nti: ‘Oba nga Aburahamu eyali omuntu omu, ensi eno yamuweebwa ebe yiye, kale alabisa ffe abangi! Ddala etuweereddwa ebe yaffe.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana w'omuntu, abo abali mu bifo ebyo ebyazika eby'omu nsi ya Isiraeri boogera nti Ibulayimu yali omu, naye n'asikira ensi: naye ffe tuli bangi; ensi etuweereddwa okuba obusika.