Ezekiel 33:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno bagambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Mmwe abalya ennyama omuli omusaayi n'amaaso gammwe ne mugasitulira ebifaananyi byammwe ebya balubaale, ne muyiwa omusaayi, mmwe mwandifunye ensi ebeere yammwe?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo bategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’eggye nti, Bwe muba nga mulya ennyama erimu omusaayi, ne musinza bakatonda bammwe abalala, ne muyiwa omusaayi, musaanidde okugabana ensi?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale bagambe nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Mulya ekirimu omusaayi, ne muyimusa amaaso gammwe eri ebifaananyi byammwe ne muyiwa omusaayi, era mulirya ensi?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale bategeeze, Nze Mukama Afugabyonna, kye mbagamba nti: ‘Mulya ennyama ekyalimu omusaayi. Musinza ebitali Katonda, era mutemula abantu. Olwo ne mulowooza nti ensi eyo eriba yammwe?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Mulya ekirimu omusaayi, ne muyimusa amaaso gammwe eri ebifaananyi byammwe ne muyiwa omusaayi, era mulirya ensi?