Ezekiel 33:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe abeesiga ebitala byammwe, abakola ebyenyinyalwa, buli omu mu mmwe agwagwawaza muka munne, mmwe mwandifunye ensi ebeere yammwe?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwesiga ekitala, ne mukola eby’ekivve, buli musajja n’ayenda ku muka muliraanwa we. Kale munaayinza mutya okugabana ensi?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwesiga kitala kyammwe, mukola eby'emizizo ne mwonoona buli muntu mukazi wa munne, era mulirya ensi?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwesiga byakulwanyisa byammwe. Mukola ebyenyinyalwa. Buli omu ayenda ne muka munne. Olwo ne mulowooza nti ensi eyo eriba yammwe?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muyima ku kitala kyammwe, mukola eby'emizizo, ne mwonoona buli muntu mukazi wa munne: era mulirya ensi?