Ezekiel 33:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bagambe kino nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Nze nga ndi mulamu, abo abasigadde mu matongo balifa ekitala; ate abali mu byalo nzija kubawa ebisolo bibalye; abali mu bwekwekero ne mu mpuku balifa kawumpuli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: Nga bwe ndi omulamu, abaasigalawo mu bifulukwa balittibwa n’ekitala, n’abo abaliba ku ttale balitaagulwataagulwa ensolo enkambwe, n’abo abaliba beekwese mu biro ebinywevu ne mu mpuku balifa kawumpuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'oti bw'oba obagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Nga bwe ndi omulamu, mazima abo abali mu bifo ebyazika baligwa n'ekitala, n'oyo ali mu ttale ebweru ndimuwaayo eri ensolo okuliibwa, n'abo abali mu bigo ne mu mpuku balifa kawumpuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bagambe nti Nze Mukama Afugabyonna mbakakasa nti nga bwe ndi omulamu, mazima abo abali mu bibuga ebyafuuka amatongo, balittibwa mu lutalo. Abo abali mu byalo aweetadde, ndibawaayo ne baliibwa ensolo enkambwe, n'abo abali mu bigo ebigumu eby'okwerindiramu, ne mu mpuku, balifa endwadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)