Ezekiel 33:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Naawe ggwe, mwana w'omuntu, abantu b'eggwanga lyo bakwogerako eyo ku bisenge ne ku miryango gy'amayumba gaabwe nga bagambagana nti: ‘Mujje muwulire ekigambo ekivudde ew'Omukama.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naawe ggwe omwana w’omuntu, abatuuze ab’omu ggwanga lyo abatuula ku Bbugwe ne mu nzigi ez’amayumba bagambagana nti, ‘Mujje tuwulire ekigambo ekiva eri Mukama Katonda,’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naawe, omwana w'omuntu, abantu bo bakwogerako mu bisaakaate ne mu miryango egy'ennyumba, nga bagambagana nti, Mujje, tuwulire ekigambo ekivudde eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu, abantu bo bakwogerako nga basisinkanye ku mabbali g'ebisenge ne ku miryango gy'ennyumba zaabwe, ne bagambagana nti: ‘Mujje baana battu, tugende tuwulire Mukama ky'atugamba.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naawe, omwana w'omuntu, abaana b'abantu bo bakwogerako awali ebisaakaate ne mu miryango egy'ennyumba, ne bagambagana, buli muntu ng'agamba muganda we nti Mujje, mbeegayiridde, muwulire ekigambo ekivudde eri Mukama.