Ezekiel 33:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bange bajja gy'oli nga bwe batera okukola, ne batuula awo w'oli, ne bawulira by'oyogera, naye tebabissa mu nkola. N'akamwa kaabwe balaga nga baagala, naye emitima gyabwe girulunkanira kufuna na bulyazaamaanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abantu bange nga bwe batera okukola, ne bawulira byoyogera naye ne batabikola, ne boolesa okwagala kwabwe n’emimwa gyabwe, naye ng’emitima gyabwe gigoberera amagoba gaabwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bajja gy'oli ng'abantu bwe bajja, ne batuula mu maaso go ng'abantu bange ne bawulira ebigambo byange naye ne batabikola: kubanga boolesa okwagala kungi n'akamwa kaabwe, naye omutima gwabwe gugoberera amagoba gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bajja kinnabulungi, ne batuula mu maaso go ng'abantu bange, ne bawulira by'obagamba, naye nga tebajja kubikola, kubanga balaga okwagala kungi, naye mu bigambo bugambo, emitima gyabwe nga gyemalidde ku kufuna magoba ag'okuwampanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)