Ezekiel 33:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obafaananira bufaanaanyirizi ng'oli ayimba oluyimba olw'omukwano n'eddoboozi eddungi, ng'okubirako bulungi ekivuga, kubanga bawulira ebigambo byo naye tebabissa mu nkola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
laba gye bali oli ng’omuntu ayimba oluyimba olw’okwagala mu ddoboozi eddungi, era amanyi okukuba obulungi ennanga, kubanga bawulira ebigambo byo naye ne batabissamu nkola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era, laba, oli gyebali ng'oluyimba olulungi ennyo olw'omuntu alina eddoboozi erisanyusa ennyo, era amanyi okukuba obulungi ennanga: kubanga bawulira ebigambo byo, naye ne batabikola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe bakulaba ng'omuntu abayimbira oluyimba olulungi mu ddoboozi erisanyusa ennyo, era amanyi okukuba obulungi ennanga, kubanga bawulira by'obagamba, naye ne batabikola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era, laba, oli gye bali ng'oluyimba olulungi ennyo olw'omuntu alina eddoboozi erisanyusa ennyo, era amanyi okukuba obulungi ennanga: kubanga bawulira ebigambo byo, naye ne batabikola.