Ezekiel 33:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne wabaawo awulidde eŋŋombe naye n'atafaayo, ekitala kimala kijja ne kimutwala, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
awo omuntu yenna bw’aliwulira ekkondeere n’atalabuka ekitala bwe kirijja ne kigyawo obulamu bwe, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale buli awulira okuvuga kw'ekkondeere n'atalabuka, ekitala bwe kijja ne kimuggyawo, kale omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale buli awulira ekkondeere nga livuga n'atalabuka, abalabe ne bajja ne bamutta, olwo ye okuttibwa, gunaabanga musango gwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale buli awulira okuvuga kw'ekkondeere n'atalabuka, ekitala bwe kijja ne kimuggyawo, kale omusaayi gwe gunaabanga ku mutwe gwe ye.