Ezekiel 33:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga yawulira eŋŋombe n'atafaayo, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe. Naye bw'aliba afuddeyo, oyo aliba awonyezza obulamu bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga yawulira ekkondeere n’atalabuka, omusaayi gwe kyeguliva gubeera ku mutwe gwe ye. Singa yakola nga bwe yalabulwa yandiwonyezza obulamu bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga awulidde okuvuga kw'ekkondeere n'atalabuka; omusaayi gwe kye guliva gubeera ku mutwe gwe ye, naye singa yalabuka yandiwonyezza emmeeme ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye okuttibwa, gunaabanga musango gwe, kubanga aba awulidde ekkondeere nga livuga n'atafaayo kulabuka. Aba kufaayo n'alabuka, yandiwonyezza obulamu bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awulidde okuvuga kw'ekkondeere n'atalabuka; omusaayi gwe gunaabanga ku ye: naye singa alabuse yandiwonyezza emmeeme ye.