Ezekiel 33:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye omukuumi bw'aliba alabye ekitala nga kijja, n'atafuuwa ŋŋombe kulabula bantu, ekitala ne kijja ne kibatwalako omu ku bo, oyo aliba atwaliddwa lwa kibi kya mukuumi, era omukuumi ndimubanja omusaayi gwe.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omukuumi bw’alaba ekitala nga kijja n’atafuuwa kkondeere okulabula abantu, ekitala ne kijja ne kigyawo obulamu bw’omu ku bo, omuntu oyo aliggyibwawo olw’obutali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana omukuumi.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omukuumi bw'alabanga ekitala nga kijja, n'atafuuwa kkondeere, abantu ne batalabulwa, ekitala ne kijja, ne kiggya mu bo omuntu yenna; kale ng'aggiddwawo mu butali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana omukuumi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka omukuumi bw'alaba abalabe nga bajja, n'atafuuwa kkondeere, abantu ne batalabulwa, abalabe ne bajja, ne babaako gwe basaanyaawo ng'ali mu bibi bye, okuttibwa kwe ndikuvunaana mukuumi oyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omukuumi bw'alabanga ekitala nga kijja, n'atafuuwa kkondeere, abantu ne batalabulwa, ekitala ne kijja, ne kiggya mu bo omuntu yenna; kale ng'aggiddwawo mu butali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gw'omukuumi.