Ezekiel 33:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe ŋŋamba omubi nti: ‘Owange mubi ggwe, oli wa kufa,’ ggwe n'otoyogera kukoma ku mubi oyo ave mu makubo ge, n'amala afiira mu kibi kye, omusaayi gwe ndigubanja ggwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe ŋŋambanga omukozi w’ebibi nti, ‘Ggwe omwonoonyi, mazima olifa,’ n’otoyogera okumulabula okuleka ekkubo lye, omwonoonyi oyo alifa olw’ebibi bye, naye omusaayi gwe ndiguvunaana gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe ŋŋambanga omubi nti Ayi omubi, tolirema kufa, n'otoyogera kulabula omubi okuva mu kkubo lye; omuntu oyo omubi alifiira mu butali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana ggwe
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe ŋŋamba omubi nti ‘Ggwe omubi, ojja kufa’, ggwe n'otoyogera okumulabula ave mu mpisa ze embi, omuntu oyo omubi alifiira mu bibi bye, kyokka okufa kwe ndikuvunaana ggwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe ŋŋambanga omubi nti Ai omubi, tolirema kufa, n'otoyogera kulabula omubi okuva mu kkubo lye; omuntu oyo omubi alifiira mu butali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gwo.