Ezekiel 33:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye singa olabula omubi ave mu makubo ge, n'atagavaamu, alifa olw'ekibi kye, naye ggwe oliba owonyezza obulamu bwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bw’olabulanga omwonoonyi okuleka ekkubo lye, n’ajeema, alifiira mu bibi bye, naye ggwe oliba olokodde obulamu bwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era naye bw'olabulanga omubi okuleka ekkubo lye, n'atakyuka okuva mu kkubo lye; alifiira mu butali butuukirivu bwe, naye ggwe ng'owonyezza emmeeme yo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bw'olabula omubi okukyuka ave mu mpisa ze embi, n'atakyuka kuzivaamu, alifiira mu bibi bye, naye ggwe oliba owonyezza obulamu bwo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye bw'olabulanga omubi ekkubo lye okukyuka okulivaamu, n'atakyuka okuva mu kkubo lye; alifiira mu butali butuukirivu bwe, naye ggwe ng'owonyezza emmeeme yo.