Ezekiel 34:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda kino ky'agamba: Nze nzennyini nnyiigidde abasumba; nzija kubaggyako obuvunaanyizibwa ku ndiga zange; nzija kubaggyako ogw'okulunda endiga zange, nabo bennyini tebaddeyo kwerabirira. Endiga zange nzija kuziwonya mu kamwa kaabwe, teziddeyo kubeera kyabwe kya kweliira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nnina ensonga ku basumba, era ndibavunaana olw’ekisibo kyange. Ndibaggyako okulabirira endiga mulekeraawo okuzifuula ekyokulya. Ndiwonya endiga zange mu kamwa kaabwe, zireme okuba ekyokulya kyabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndi mulabe wa basumba; era ndivunaana endiga zange mu mukono gwabwe, ne mbalekesaayo okuliisa endiga; so n'abasumba tebalyeriisa bokka nate; era ndiwonya endiga zange mu kamwa kaabwe zireme okuba eky'okulya eri bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Mukama Afugabyonna, nnangirira nti ndi mulabe wammwe, mmwe abasumba. Nja kubaggyako endiga zange, muleme kwongera kukola gwa kuzirabirira, era muleme kuddamu kwerabirira mwekka. Ndiwonya endiga zange, ne mutazikavvula nga muzifuula ekyokulya kyammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndi mulabe wa basumba; era ndivunaana endiga zange mu mukono gwabwe, ne mbalekesaayo okuliisa endiga; so n'abasumba tebalyeriisa bokka nate; era ndiwonya endiga zange mu kamwa kaabwe zireme okuba ekyokulya eri bo.