Ezekiel 34:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Kubanga Omukama Katonda kino ky'agamba: Nze nzennyini nzija kunoonya endiga zange, nzija kuzirabirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Era bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nze kennyini ndinoonya endiga zange ne nzirabirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama Katonda bw'ayogera bw'ati nti Laba, nze mwene, nze ndinoonya endiga zange, ne nzibuuliriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti nze mwene, nze ndinoonya endiga zange, ne mbuuliriza gye ziri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama Katonda bw'ayogera bw'ati nti Laba, nze mwene, nze ndinoonya endiga zange, ne nzibuuliriza.