Ezekiel 34:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'omusumba bw'alabirira endiga ze, lw'abeera nazo nga zisaasaanye, nange bwe ntyo bwe ndirabirira endiga zange; ndiziwonyaayo eyo mu bifo wonna gye zaasaasaanira ku lunaku lw'ekire n'enzikiza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’omusumba bw’alabirira ekisibo kye ng’ezimu ku ndiga zisaasaanye okumuvaako, bwe ntyo bwe ndizirabirira. Ndiziggya mu bifo byonna gye zaasaasaanira ku lunaku olw’ebire olw’ekizikiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ng'omusumba bw'abuuliriza ekisibo kye ku lunaku lw'abeera mu ndiga ze ezisaasaanye, bwe ntyo bwe ndibuuliriza endiga zange; era ndiziggya mu bifo byonna gye zaasaasaanira ku lunaku olw'ebire olw'ekizikiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ng'omusumba bw'abuuliriza ku ggana lye ku lunaku lw'abeera mu ndiga ze ezisaasaanye, nange bwe ntyo bwe ndibuuliriza ku ndiga zange, era ndiziggya mu bifo byonna gye zaasaasaanira ku lunaku olw'ebire n'ekizikiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'omusumba bw'abuuliriza ekisibo kye ku lunaku lw'abeera mu ndiga ze ezisaasaanye, bwe ntyo bwe ndibuuliriza endiga zange; era ndiziwonya mu bifo byonna gye zaasaasaanira ku lunaku olw'ebire olw'ekizikiza.