Ezekiel 34:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kuziggyayo mu mawanga, nzikuŋŋaanye okuva eyo mu nsi, nzikomyewo mu nsi yaazo. Nzija kuzirundira mu nsozi za Yisirayeli, mu biwonvu ne wonna mu nsi awaasengwa abantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndiziggya mu mawanga ne nzikuŋŋaanya mu nsi gye zaasaasaanira ne nzikomyawo mu nsi yaazo. Ndiziriisiza ku nsozi za Isirayiri okumpi n’enzizi ne mu bifo byonna ebibeerwamu mu nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndiziggya mu mawanga, ne nzikuŋŋaanya okuziggya mu nsi nnyingi, ne nzireeta mu nsi yaazo zo; era ndiziriisiza ku nsozi za Isiraeri ku lubalama lw'ensalosalo z'amazzi ne mu bifo byonna ebibeerwamu eby'ensi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndiziggya mu mawanga, ne nzikuŋŋaanya okuziggya mu nsi nnyingi, ne nzireeta mu nsi eyaazo. Ndiziriisiza ku nsozi z'omu Yisirayeli, ne ku mbalama z'emigga, ne mu bifo byonna eby'omu nsi eyo ebibeeramu abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)