Ezekiel 34:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyali ebuze nzija kuginoonya, nkomyeewo eyali ebaamye, emmenyefu nzija kugisiba, ennyongobevu ngizzeemu endasi, engevvu n'ey'amaanyi nzija kuzissaako eriiso; nzija kuzirunda mu bwenkanya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndinoonya ezaabula, ne nkomyawo ezaawaba. Ndigyanjaba ezaalumizibwa, ne ŋŋumya ennafu, naye ensava era ez’amaanyi ndizizikiriza. Ndirunda ekisibo mu bwenkanya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndinoonya ezaabula, ne nkomyawo ezaawaba, ne nsiba ezaamenyeka, ne nzizzaamu amaanyi eziteyinza, naye ezassava n'ez'amaanyi, ndizirabirira ne nziriisa mu mazima.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ndinoonya ezo ezibuze, ne nkomyawo ezo eziwabye, ne nsiba ezo ezimenyese, ne nzijanjaba ezo ezirwadde. Naye ezo ensava era ez'amaanyi, ndizikuuma, era ne nziriisa mu bwenkanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ndinoonya ekyo ekibuze ne nkomyawo ekyo ekigobeddwa ne nsiba ekimenyese ne nzisaamu amaanyi mu ekyo ekirwadde: n'ebya ssava n'eby'amaanyi ndibizikiriza; ndibiriisa n'omusango.