Ezekiel 34:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Nammwe, endiga zange, Omukama Katonda kino ky'agamba: Nzija kulamula wakati w'endiga n'endiga, ne wakati w'endiga ennume n'embuzi ennume.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Nammwe ekisibo kyange, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndisala omusango wakati w’endiga emu ne ginnaayo ne wakati w’endiga ennume n’embuzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nammwe, ekisibo kyange, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, nsala omusango ogw'ensolo n'ensolo, ogw'endiga ennume era n'embuzi ennume.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale mmwe eggana lyange Abayisirayeli, Nze Mukama Afugabyonna, mbagamba nti ndisala omusango ogwa buli omu ku mmwe. Mmwe endiga ennume n'embuzi ennume,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nammwe, ekisibo kyange, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, nsala omusango ogw'ensolo n'ensolo, ogw'endiga ennume era n'embuzi ennume.