Ezekiel 34:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuliira mu malundiro amalungi tekibamalira? Lwaki ate mwandirinnyiridde eddundiro lyammwe lyonna n'ebigere? Tekibamalira okunywa amazzi amayonjo? Lwaki ate mwandigasiikudde n'ebigere byammwe?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tekibamala okulya omuddo? Kale ate lwaki mulinnyirira ogusigaddewo mu ddundiro, nga n’okunywa mwanywa amazzi amayonjo, naye ne musiikuula agaasigalawo n’ebigere byammwe!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukiyita kigambo kitono nga mu maze okulya omuddo omulungi, naye ate ne mulinnyirira ogusigaddewo? Era nga mu maze okunywa amazzi amateefu, naye ate ne musiikuula n'ebigere byammwe agasigaddewo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
temumatira okulya omuddo omulungi naye mussaako n'okulinnyirira ogwo gwe mutalidde. Bwe mumala okunywa amazzi amayonjo, musiikuula ago agasigaddewo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukiyita kigambo kitono nga mwalya omuddo omulungi, naye ne kibagwanira okulinnyirira n'ebigere byammwe omuddo gwammwe ogwafikkawo? era nga mwanywa amazzi amateefu, naye ne kibagwanira okutabangula n'ebigere byammwe agafisseewo?