Ezekiel 34:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, langa oyogerere abasumba ba Yisirayeli; langa ogambe abasumba nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Zibasanze mmwe abasumba ba Yisirayeli, mmwe abeefaako mwekka. Abasumba endiga si ze bandirunze?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu, yogera ebyobunnabbi eri abasumba ba Isirayiri, obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Zibasanze abasumba ba Isirayiri abeefaako bokka. Abasumba tebasaanye kuliisa ndiga?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omwana w'omuntu, gamba abasumba ba Isiraeri, obagambe abasumba nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Zibasanze abasumba ba Isiraeri abeeriisa bokka! abasumba tebasaanye kuliisa ndiga?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu, langa eby'akabi ebirituuka ku bakulembeze ba Yisirayeli, obategeeze, Nze Mukama Afugabyonna, kye mbagamba nti: Zibasanze mmwe abasumba ba Yisirayeli, abeeriisa mwekka, ne mutaliisa ndiga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana w'omuntu, balagulireko abasumba ba Isiraeri, olagule obagambe, ogambe abasumba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Zibasanze abasumba ba Isiraeri abeeriisa bokka! abasumba tebandiriisizza ndiga?