Ezekiel 34:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno kino Omukama Katonda ky'agamba: Nzuuno nze nzija kwelamulira wakati w'engevvu n'enkovvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘ Mukama Katonda kyava abagamba nti, Laba, nze kennyini ndisala omusango wakati w’endiga ensava n’endiga enkovvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mukama Katonda kyava abagamba bw'ati nti Laba, nze, nze mwene, ndisala omusango gw'endiga ensava n'ogw'endiga enkovvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale kaakano, Nze Mukama Afugabyonna, mbagamba nti nze nzennyini ndisala omusango wakati w'endiga engevvu n'enkovvu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda kyava abagamba bw'ati nti Laba, nze, nze mwene, ndisala omusango ogw'ensolo eza ssava n'ogw'ensolo enkovvu.