Ezekiel 34:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Nzija kuzissaako omusumba omu anaazirunda, omuweereza wange Dawudi; y'anaazirunda, y'aliba omusumba waazo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndiziwa omusumba omu, omuweereza wange Dawudi, alizirunda; alizirabirira era aliba musumba waabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndissaawo ku zo omusumba omu, naye alizirunda, omuddu wange Dawudi, ye alizirunda, era ye aliba omusumba waazo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndiziteerawo omusumba omu ali ng'omuweereza wange Dawudi. Oyo ye alizirunda, n'aba omusumba waazo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndissaawo ku zo omusumba omu, naye alizirunda, omuddu wange Dawudi; ye alizirunda, era ye aliba omusumba waazo.