Ezekiel 34:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze Omukama nze ndiba Katonda waazo, ate omuweereza wange Dawudi nga ye mulangira mu zo wakati, nze Omukama njogedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nze Mukama ndiba Katonda waabwe, n’omuddu wange Dawudi aliba mulangira mu bo. Nze Mukama njogedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange Mukama ndiba Katonda waabwe, n'omuddu wange Dawudi aliba mulangira mu bo, nze Mukama nkyogedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Mukama ndiba Katonda waabwe, n'omuweereza wange, ali nga Dawudi, n'aba omukulembeze waabwe. Nze Mukama, njogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange Mukama ndiba Katonda waabwe, n'omuddu wange Dawudi aliba mulangira mu bo; nze Mukama nkyogedde.