Ezekiel 34:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndiziwa omukisa, era na byonna ebyetoolodde akasozi kange; nditonnyesanga enkuba mu budde bwayo; walibaawo enkuba ey'omukisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndiziwa omukisa wamu n’ebifo ebyetoolodde akasozi kange, era ndibatonnyeseza enkuba mu ntuuko yaayo; walibaawo enkuba ey’omukisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndibawa omukisa wamu n'ebifo ebyetoolodde olusozi lwange; era nditonnyesa enkuba mu ntuuko yaayo, walibaawo enkuba ey'omukisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ndibawa omukisa, era ne babeeranga mu bifo ebyetoolodde olusozi lwange olutukuvu. Nnaabatonnyesezanga enkuba ennungi mu biseera byayo mwe bagyetaagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndibafuula omukisa n'ebifo ebyetoolodde olusozi lwange; era nditonnyesa oluwandaggirize mu ntuuko zaalwo; walibaawo empandaggirize ez'omukisa.