Ezekiel 34:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emiti mu nnimiro giribala ebibala byagyo, n'ettaka lirimeza ebimera byalyo; balituula ntende mu nsi yaabwe. Olwo balimanya nti nze Mukama bwe ndimenya ebiti by'ekikoligo kyabwe, ne mbaggya mu mikono gy'abaabafuula abaddu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emiti egy’omu ttale girireeta ebibala byagyo, n’ettaka lirimeza ebimera byalyo, era n’abantu balituula mirembe mu nsi yaabwe. Balimanya nga nze Mukama bwe ndimenya ebisiba eby’ekikoligo kyabwe ne mbawonya mu mukono gwabwo abaabafuula abaddu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omuti ogw'omu ttale gulibala ebibala byagwo, n'ettaka lirireeta ekyengera kyalyo, nabo baliba mu nsi yaabwe nga tebaliiko kye batya; kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndiba nga mmaze okumenya ebisiba eby'ekikoligo kyabwe, era nga mbawonnyezza mu mukono gw'abo abaabafuula abaddu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emiti ginaabalanga ebibala, n'ennimiro zinaayezanga ebirime, era n'abantu banaabeeranga mu nsi yaabwe nga tebaliiko kye batya. Bwe ndimala okukutula enjegere ezisibye abantu bange, ne mbawonya abo ababafuga obuddu, olwo balimanya nga Nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)