Ezekiel 34:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndibasibusiza ebimera eby'erinnya, tebaliddayo kudooba lwa njala mu nsi, yadde okubeera ekisekererwa mu mawanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndiziwa ensi emanyiddwa olw’ebirime byayo, zireme okulumwa enjala nate mu nsi newaakubadde okunyoomebwa amawanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndibayimusiza ensuku engimu, so tebalimalibwawo nate n'enjala mu nsi, so tebalibaako nsonyi za b'amawanga nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibagimusiza ennimiro zaabwe, ne mmalawo enjala mu nsi eyo. Ab'amawanga amalala tebaliddamu kubasekerera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndibayimusiza olusuku olw'okwatiikirira, so tebalimalibwawo nate n'enjala mu nsi, so tebalibaako nsonyi za b'amawanga nate.