Ezekiel 34:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amata ye mmere yammwe, engoye mwambala za byoya bya ndiga, muttamu ensolo ensavuwaze, sso lyo eggana nga temulirabirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulya amasavu, ne mwambala ebyoya, ne mutta ensolo ensava, naye temufaayo ku bisibo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mulya amasavu, ne mwambala ebyoya, ne mutta ensolo ensava, naye ne mutaliisa ndiga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munywa amata gaazo, ne mwambala engoye ezikolebwa mu byoya byazo, ne mutta ezisingamu obusava, ne mulya, naye nga temuzirabirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mulya masavu, ne mwambala ebyoya, ne mutta ebya ssava; naye ne mutaliisa ndiga.