Ezekiel 34:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe endiga zange, muli ggana, abantu b'omu ddundiro lyange, nange ndi Katonda wammwe, Omukama Katonda y'agamba.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmwe ndiga zange, endiga ez’eddundiro lyange, muli bantu bange, era nze ndi Katonda wammwe, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nammwe, endiga zange, endiga ez'omu ddundiro lyange, muli bantu bange, nange ndi Katonda wammwe, bw'ayogera Mukama Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mmwe endiga zange, eggana lye ndiisa, muli bantu bange, nze ndi Katonda wammwe,” Mukama Katonda bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nammwe, endiga zange, endiga ez'omu ddundiro lyange, muli bantu, nange ndi Katonda wammwe, bw'ayogera Mukama Katonda.