Ezekiel 34:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Endiga zange zaabungirabungira mu nsozi zonna na ku buli kasozi akawanvu, ne zisaasaanira wonna mu nsi, ne wataba anoonyaako, yadde aziwondera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Endiga zange zaasaasaana, ne zibuna ku nsozi zonna na ku buli kasozi akawanvu, ne zisaasaana okubuna ensi yonna, ne zibulwako azinoonya wadde okuzibuuliriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Endiga zange zaabulubuutira ku nsozi ne ku buli kasozi akawanvu, weewaawo, ne zisaasaana okubuna ensi yonna, ne zibulwako azinoonya wadde okuzibuuliriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Endiga zange ne zibungeetera ku nsozi zonna, ne ku buli kasozi akawanvu. Ddala zaasaasaanira mu nsi yonna, ne watabaawo azinoonya, wadde azibuuliriza gye ziraze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Endiga zange zaabulubuutira ku nsozi zonna ne ku buli kasozi akawanvu: weewaawo, endiga zange zaasaasaanira ku maaso g'ensi yonna; so tewali eyazinoonya newakubadde okuzibuuliriza.