Ezekiel 34:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze nga ndi mulamu, Omukama Katonda y'agamba, kubanga eggana lyange linyagibwa, endiga zange ebisolo byonna eby'omu nsiko ne bizeeriira olw'obutabaawo musumba; era kubanga abasumba bange tebanoonya ndiga zange, wabula beefaako bokka mu kifo ky'okulabirira endiga zange,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, olw’endiga zange okufuuka omuyiggo, n’ekyokulya eri ensolo enkambwe zonna, kubanga tezirina musumba, ate era n’abasumba ne batazinoonya, naye ne beefaako bokka, ne bataliisa ndiga zange,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, mazima kubanga endiga zange zaafuuka muyiggo, era endiga zange zaafuuka kya kulya eri ensolo ez'omu nsiko olw'obutabaako musumba, era n'abasumba bange tebanoonya ndiga zange, naye ne beeriisa bokka ne bataliisa ndiga zange;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Mukama Afugabyonna, ndayira nti nga bwe ndi omulamu, musaanye muwulire bye ŋŋamba. Endiga zange zaafuuka muyiggo, era zaafuuka mmere ya buli kisolo kikambwe eky'omu ttale, olw'obutabaako musumba. Abasumba be naziteekako, tebazinoonya, naye beefaako bokka ne batalabirira ndiga zange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, mazima kubanga endiga zange zaafuuka muyiggo, era endiga zange zaafuuka kya kulya eri ensolo zonna ez'omu nsiko olw'obutabaawo musumba, so n'abasumba bange tebanoonya ndiga zange, naye abasumba ne beeriisa bokka ne bataliisa ndiga zange;