Ezekiel 35:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Kubanga wagamba nti: “Amawanga gano abiri n'ensi zombi biriba byaffe, tulibyezza,” newandibadde ng'Omukama yaliyo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Mwalowooza nga amawanga ga Yuda ne Isirayiri gammwe, era ne mulowooza okugeetwalira. Naye nze ndi Mukama waabwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga wayogera nti Amawanga gano gombi n'ensi zino zombi zizo, era olizetwalira, newakubadde nga Mukama yali eyo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Wagamba nti: ‘Amawanga ago gombi n'ensi ezo zombi, Yisirayeli ne Buyudaaya, biriba byange, naffe tubyefuge, wadde nga Mukama ye abirimu.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga wayogera nti Amawanga gano gombi n'ensi zino zombi biriba byange, naffe tuligirya; naye Mukama yali eyo: