Ezekiel 35:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kale nno, mazima nze nga ndi mulamu, Omukama Katonda y'agamba, nzija kukuyisa okwenkana n'obusungu n'obuggya bye mwalaga mu kubakyawa; olwo ndibawa okummanya mu bo bwe ndibalamula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda nti, ndibabonereza olw’obusungu n’obuggya bye mwabalaga nga mubakyawa, balyoke bammanye, mmwe bwe ndibasalira omusango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, ndikola ng'obusungu bwo bwe buli era ng'obuggya bwo bwe buli bwe walaga okuva mu kukyawa kwe wabakyawa; era ndyemanyisa mu bo, bwe ndikusalira omusango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nkukakasa nti nze, Mukama Afugabyonna, nga bwe ndi omulamu, ndikusasula olw'obusungu bwo n'obuggya bwo era n'obukyayi bw'olina ku bantu bange, era balimanya nga nkubonereza lw'ebyo bye wakola ku bo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)