Ezekiel 35:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo olimanya nti nze Mukama nawulira byonna ebivumo bye wavumamu olusozi lwa Yisirayeli, bwe wagamba nti: “Bavunjagiddwa; batuweereddwa tubakavvule.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma olimanya nga nze Mukama mpulidde byonna eby’obunyoomi bye wayogera eri ensozi za Isirayiri. Nagamba nti, “Bafuuse matongo, era baweereddwayo gye tuli okubamalawo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale olimanya nga nze Mukama mpulidde okuvvoola kwo kwonna kwe wavvoola eri ensozi za Isiraeri, ng'oyogera nti Zirekeddwawo, ziweereddwa ffe okuzirya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale olimanya nga Nze Mukama, nawulira bye wayogera n'obunyoomi, ng'ogamba nti ensozi za Yisirayeli zirekeddwawo ttayo, era nti ziweereddwa ggwe ozeefuge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale olimanya nga nze Mukama mpulidde okuvvoola kwo kwonna kwe wavvoola eri ensozi za Isiraeri, ng'oyogera nti Zirekeddwawo, ziweereddwa ffe okuzirya.