Ezekiel 35:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga bwe wasanyuka ng'obusika bw'ennyumba ya Yisirayeli bulekeddwa matongo, naawe bwe nnaakukola. Ojja kusigala matongo, ggwe olusozi Seyiri ne Edomu yenna; olwo balimanya nti nze Mukama.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okuba nga wasanyuka, omugabo gw’ennyumba ya Isirayiri bwe gwafuuka amatongo nange bwe ntyo bwe ndikukola. Ggwe olusozi Seyiri ne Edomu yonna mulifuuka matongo, mulyoke mumanye nga nze Mukama.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga bwe wasanyukira obusika obw'ennyumba ya Isiraeri bwe bwafuuka amatongo, nange bwe ntyo bwe ndikukola. Gwe olusozi Seyiri ne Edomu yonna, mulifuuka matongo, kale balimanya nga nze Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga naawe bwe wasanyuka nga Yisirayeli, ensi yange, efuuse amatongo. Olusozi Seyiri, n'ensi ya Edomu yonna w'efa yenkana erifuulibwa matongo. Kale balimanya nga Nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga bwe wasanyukira obusika obw'ennyumba ya Isiraeri kubanga bwafuulwa amatongo, bwe ntyo bwe ndikukola ggwe: oliba nga ofuuliddwa amatongo, si olusozi Seyiri ne Edomu yonna, yonna bwe yenkana: kale balimanya nga nze Mukama.