Ezekiel 35:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Kubanga obukyayi wabufuula bwa lubeerera, abantu ba Yisirayeli n'obawaayo mu maanyi g'ekitala mu budde bw'obuyinike bwabwe, mu budde ekibonerezo kyabwe we kyatuukira ku ntikko,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Kubanga wasiba ekiruyi eky’edda n’owaayo Abayisirayiri okuttibwa mu biro mwe baalabira ennaku, mu biro eby’okubonerezebwa kwabwe okwenkomerero,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga wabanga n'obulabe obutakoma, n'owaayo abaana ba Isiraeri okuttibwa mu biro mwe baalabira ennaku, mu biro eby'okubonerezebwa kwabwe okw'enkomerero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga wakuuma obulabe ku Bayisirayeli, n'obawaayo okuttibwa mu lutalo mu kaseera kaabwe akazibu, lwe nababonereza olw'ebibi byabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga wabanga n'obulabe obutaggwaawo, n'owaayo abaana ba Isiraeri eri obuyinza obw'ekitala mu biro mwe baalabira ennaku, mu biro eby'obutali butuukirivu obw'enkomerero: