Ezekiel 35:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
awo nno, mazima nze nga ndi mulamu, Omukama Katonda y'agamba, nzija kukuwaayo eri okuyiwa omusaayi, okuyiwa omusaayi kunaakuyigganga; nga bw'otokyawa kuyiwa musaayi, okuyiwa omusaayi kunaakuyigganga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga bwe ndi omulamu, kyendiva mbawaayo muttiŋŋane era okuttiŋŋana kulibalondoola, bw’ayogera Mukama Katonda. Kubanga temwakyawa kuyiwa musaayi, okuyiwa omusaayi kyekuliva kubalondoola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, kyendiva nkuteekerateekera omusaayi, n'omusaayi gulikucocca: kubanga tewakyawa musaayi, omusaayi kyeguliva gukucocca.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno mbakakasa nti Nze Mukama Afugabyonna nga bwe ndi omulamu, mbateekeddeteekedde okuttibwa, era temulikuwona. Nga bwe mutaakyawa kutta bannammwe, nammwe mulittibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, kyendiva nkuteekerateekera omusaayi, n'omusaayi gulikucocca: kubanga tewakyawa musaayi, amusaayi kyeguliva gukucocca.