Ezekiel 35:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndikufuula matongo ag'emirembe gyonna, n'ebibuga byo temuliba asulamu; olwo mulimanya nti nze Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndikufuula matongo emirembe gyonna, so tewaliba alibeera mu bibuga byo, olyoke omanye nga nze Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndikufuula amatongo ag'olubeerera, era ebibuga byo tebiribeeramu bantu, kale mulimanya nga nze Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndikufuula amatongo ag'olubeerera, era ebibuga byo tebiriddayo kubaamu bantu. Olwo mulimanya nga Nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ndifukuula amatongo agataliggwaawo, so n'ebibuga byo tebirituulwamu: kale mulimanya nga nze Mukama.