Ezekiel 36:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, langa eri ensozi za Yisirayeli, ogambe nti: ‘Wattu ensozi za Yisirayeli, muwulire ekigambo ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu, yogera obunnabbi eri ensozi za Isirayiri, ogambe nti, Mmwe ensozi za Isirayiri, muwulire ekigambo kya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naawe, omwana w'omuntu, yogera eri ensozi za Isiraeri, ogambe nti, Mmwe ensozi za Isiraeri, muwulire ekigambo kya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Era ggwe omuntu, langirira ensozi z'omu Yisirayeli ozigambe nti: ‘Mmwe ensozi za Yisirayeli, muwulire ebyo, Mukama by'agamba,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naawe, omwana w'omuntu, lagula ensozi za Isiraeri oyogere nti Mmwe ensozi za Isiraeri, muwulire ekigambo kya Mukama.